Ezekiel 22:30 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mu bo nanoonyaamu omusajja eyandizimbye bbugwe, eyandiyimiriddewo n'obuzira mu maaso gange ataase ensi nneme kugisaanyaawo, naye saamusanga.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Ne nnoonya omuntu mu bo ayinza okuzimba ekisenge era ayinza okubeeyimiririra mu maaso gange ku lw’ensi, naye ne siraba n’omu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Nnanoonya omusajja mu bo ayinza okuddaabiriza ekisenge, n'ayimirira mu maaso gange mu kituli ekikubiddwa mu kisenge, awolereze ensi eyo nneme okugizikiriza, naye ne ssiraba n'omu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Nanoonya mu bo omuntu ayinza okuddaabiriza ekisenge, n'ayimirira mu maaso gange mu kituli ekikubiddwa mu kisenge ekyo, awolereze ensi eyo nneme okugizikiriza, kyokka ne sirabayo n'omu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne nnoonya omusajja mu bo eyandiddaabirizza olukomera n'ayimirira mu kituli ekiwaguddwa mu maaso gange ku lw'ensi, nneme okugizikiriza: naye ne ssiraba n'omu.