Ezekiel 22:4 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ozzizza omusango olw'omusaayi gwo gwe wayiwa n'olw'ebifaananyi byo ebya balubaale bye wakola ebyakwonoona; ennaku zo ozisembezezza n'enkomerero y'emyaka gyo etuuse. Kyennava nkufuula ekisekererwa mu mawanga n'eky'okunyooma mu nsi yonna.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
era osingiddwa olw’omusaayi gw’oyiye era weeyonoonyesezza olwa bakatonda abalala be weekolera. Ennaku zo ozikomekkerezza, enkomerero ye myaka gyo etuuse. Kyendiva nkuswaza eri amawanga, n’ofuuka eky’okusekererwa eri ensi zonna.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ozzizza omusango ogw'omusaayi gw'oyiye, era ogwagwawazibbwa n'ebifaananyi byo bye wakola; era osembezezza ennaku zo, era otuuse ne mu myaka gyo: kyenvudde nkufuula ekivume eri amawanga, n'eky'okusekererwa eri ensi zonna.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ozzizza omusango gw'obutemu, era weejaajaamizza olw'ebifaananyi bya balubaale bye wakola, ekiseera kyo ne kituuka, era kiweddeko, kyenvudde nkuleka okuvumibwa amawanga n'okusekererwa ensi zonna.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ozzizza omusango ogw'omusaayi gwo gw'oyiye, era ogwagwawazibwa n'ebifaananyi byo bye wakola; era osembezezza ennaku zo, era otuuse ne mu myaka gyo: kyenvudde nkufuula ekivume eri amawanga, n'eky'okukudaalira eri ensi zonna.