Ezekiel 22:7 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mu makkati go omuzadde omusajja n'omuzadde omukazi baanyoomebwa, mu ggwe omugwira n'anyigirizibwa; mulekwa ne nnamwandu baabonyaabonyezebwa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bataata ne bamaama banyoomebwa, era n’abagenyi mu mmwe banyigirizibwa, era babonyaabonya bamulekwa ne bannamwandu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mu ggwe mwe baanyoomeranga bakitaabwe ne bannyaabwe; mu ggwe mwe baajogeranga omugenyi, era mu ggwe mwe baalyazaamaanyizanga bamulekwa ne bannamwandu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mu ggwe, abaana mwe banyoomera bakitaabwe ne bannyaabwe. Mu ggwe, mwe bayiikiririza abagwira, ne balyazaamaanya bannamwandu ne bamulekwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mu ggwe mwe baanyoomeranga kitaabwe ne nnyaabwe; wakati mu ggwe mwe baakoleranga omugenyi eby'okujooga: mu ggwe mwe baalyazaamaanyanga atalina kitaawe ne nnamwandu.