Ezekiel 22:9 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mu ggwe mulimu abantu abakonjera, abagenderera okuyiwa omusaayi; mu ggwe mulimu abaliira ku nsozi, n'abakola eby'obugwenyufu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mu mmwe mulimu abantu abawaayiriza abaamalirira okuyiwa omusaayi, era mulimu n’abo abaliira ku nsozi, ne bakola eby’obugwagwa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abasajja abawaayiriza baabanga mu ggwe okuyiwa omusaayi: ne mu ggwe mwe baaliiranga ku nsozi: wakati mu ggwe mwe baakoleranga eby'obukaba.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abawaayiriza bannaabwe battibwe, bali mu ggwe. Mu ggwe, mwe muli abalya ebitambiriddwa balubaale, era mu ggwe mwe bakolera eby'obukaba.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Abasajja abawaayiriza baabanga mu ggwe okuyiwa omusaayi: ne mu ggwe mwe baaliiranga ku nsozi: wakati mu ggwe mwe baakoleranga eby'obukaba.