Ezekiel 23:10 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bano baamuleka bwereere, batabani be ne bawala be ne babatwala, naye yennyini ne bamutta n'ekitala. Yafuuka mboozi mu bakazi olw'ekibonerezo ekyamussibwako.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Baamwambula, ne batwala batabani be ne bawala be, ye ne bamutta n’ekitala. Yafuuka ekivume mu bakazi ne bamuwa n’ekibonerezo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Baamwambula ne bamuleka bwereere: ne batwala batabani be ne bawala be, ye ne bamutta n'ekitala: n'afuuka ekivume mu bakazi ne bamuwa n'ekibonerezo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Baamwambula ne bamuleka bwereere ne batwala batabani be ne bawala be, ye ne bamutta n'ekitala. Bwe yamala okusalirwa omusango okumusinga, n'afuuka emboozi y'abakazi nga bageya abakoze eby'obuwemu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Abo baabikkula ku bwereere bwe: ne batwala abaana be ab'obulenzi n'ab'obuwala; naye ne bamutta n'ekitala: n'afuuka ekigambo eky'obuwemu mu bakazi; kubanga baamukomekkerezaako emisango.