Ezekiel 23:11 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Muganda we Oliba kino yakiraba, naye ye n'alaluka n'okumusinga mu bugwenyufu ne mu bwenzi bwe, n'akola obwamalaaya n'okukira muganda we.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Newaakubadde nga muganda we Okoliba, yabiraba ebyo, yeeyongera mu bukaba bwe ne mu bwamalaaya bwe n’okusinga muganda we.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Muganda we Okoliba yalaba ebyo byonna, naye ate n'asinga muganda we mu kukyama mu bwenzi n'okusuusuuta baganzi be.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Newaakubadde muganda we Oholiba ekyo yakiraba, kyokka Oholiba oyo, n'ayitiriza nnyo okukyama mu kwerigomba kwe, ne mu bwamalaaya bwe n'okusinga muganda we.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne muganda we Okoliba n'alaba ekyo, naye n'amusinga okukyama mu kusuusuuta kwe ne mu bwenzi bwe obwabanga obungi okusinga obwenzi bwa muganda we.