Ezekiel 23:12 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye yakwatirwa Abassuri amaddu: be baamasaza, abaami n'abatabaazi abambadde ne baggumira, abeebagazi b'embalaasi, n'abavubuka bonna abeegombebwa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yakabawala n’Abasuuli, n’abaamasaza n’abaduumizi b’eggye n’abaserikale abaali bambadde obulungi engoye ennungi n’abeebagalanga embalaasi n’abaalabikanga obulungi abeegombebwanga.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yasuusuuta Abasuuli, abaamasaza n'abakulu, baliraanwa be, abaayambalanga engoye ezinekaaneka ennyo, abeebagala embalaasi, bonna abalenzi abalabika obulungi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye yasuusuuta Abassiriya baliraanwa be, abakungu, n'abakulu mu magye, abaayambalanga engoye ezinekaaneka ennyo, abeebagala embalaasi, bonna abavubuka abalabika obulungi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Yasuusuuta Abaasuli, abaamasaza n'abakulu, baliraanwa be, abaayambalanga engoye ezinekaaneka ennyo, ab'embalaasi abeebagadde embalaasi, bonna balenzi abeegombebwa.