Ezekiel 23:14 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Obwenzi bwe yabwongera mu maaso; bwe yalaba abasajja aboole ku kisenge, ebifaananyi by'Abakaludeya, abooleko mu langi emmyufu,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Naye wakati mu ebyo byonna, ne yeeyongeranga mu bwamalaaya bwe; n’alaba ebifaananyi eby’abasajja ebyasiigibwa ku bisenge, n’ebifaananyi eby’Abakaludaaya ebyatonebwa mu langi emyufu,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ye n'ayongera ku bwenzi bwe; kubanga yalaba abasajja abatonebwa ku kisenge, ebifaananyi eby'Abakaludaaya ebyatonebwa n'eggerenge,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Oholiba ne yeeyongera mu bwamalaaya bwe, kubanga yalaba ebifaananyi by'abasajja Abakaludaaya abasiigiddwa mu langi emmyufu ku kisenge,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ye n'ayongera ku bwenzi bwe; kubanga yalaba abasajja abatonebwa ku kisenge, ebifaananyi eby'Abakaludaaya ebyatonebwa n'eggerenge;