Ezekiel 23:15 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
nga beesibye ebimyu mu biwato, ku mitwe gyabwe ng'ebitambaala biweeba, bonna nga bafaanana ng'abagabe ab'oku bigaali Abakaludeya abazaaliranwa b'omu Kaludeya,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
nga beesibye enkoba mu biwato, nga beesibye n’ebiremba ku mitwe, bonna nga bafaanana ng’abakungu ba Babulooni abavuga amagaali ab’omu nsi ey’Abakaludaaya.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
nga beesibye enkoba mu biwato, nga bagaziyizza ebiremba ng'ekifaananyi bwe kiri eky'Ababulooni mu Bakaludaaya, ensi mwe baazaalirwa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
nga beesibye enkoba mu biwato, nga bagaziyizza ebitambaala byabwe ku mitwe, ng'ennyambala y'abakungu b'e Babilooni mu nsi y'Abakaludaaya mwe baazaalibwa, bw'eri.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
nga beesibye enkoba mu biwato, nga bagaziyizza ebiremba ng'ekifaananyi bwe kiri eky'Ababulooni mu Bukaludaaya, ensi mwe baazaalirwa.