Ezekiel 23:17 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abakaludeya ne bajja gy'ali ku kitanda eky'omukwano, ne bamugwagwawaza mu bwenzi bwabwe. Bwe baamala okumwonoona, n'akyukira eri ng'abeetamiddwa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Era Abababulooni ne bajja gy’ali, ne beebaka naye, era mu kwegomba kwe ne bamwonoona. Bwe baamusobyako n’abaviira, nga yeetamiddwa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abababbulooni ne bajja gy'ali mu kitanda eky'okwagala, ne bamwonoona n'obwenzi bwabwe, ye n'agwagwawazibwa nabo, omwoyo gwe ne gubatamwa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abababilooni ne bajja ne beebaka naye mu kitanda kye, ne bakola naye obwamalaaya. Bwe baamala okumwonoona, n'abatamwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Abababulooni ne bajja gy'ali mu kitanda eky'okwagala, ne bamwonoona n'obwenzi bwabwe, ye n'agwagwawazibwa nabo, omwoyo gwe ne gubatamwa.