Ezekiel 23:22 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kati nno, Oliba, Omukama Katonda kino ky'agamba: Baganzi bo nzija kubagira bakwefuulire, abo be wakuba amabega ng'obeeetamiddwa, nzija kubakuwendulira ku njuyi zonna.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Kale ggwe Okoliba, bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, Ndikuma mu baganzi bo omuliro, ne bakulumba ku njuyi zonna:
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kale, ggwe Okoliba, bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti, “Laba, ndigolokosa ku ggwe baganzi bo omwoyo gwo be gutamiddwa, ne mbaleeta okukulumba enjuyi zonna:
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Kale ggwe Oholiba, kino Nze Mukama Afugabyonna, kye nkugamba: ndisitula ne ndeeta baganzi bo abo b'otamiddwa, ne bakulumba ku njuyi zonna.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kale, ggwe Okoliba, bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti Laba, ndigolokosa ku ggwe baganzi bo omwoyo gwo be gutamiddwa, ne mbaleeta okukulumba enjuyi zonna: