Ezekiel 23:24 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
balikujjira nga bava emambuka n'ebigaali n'amagaali n'abantu nfaafa; balikuzinda ku njuyi zonna nga babagalidde engabo ennene n'entono n'enkufiira. Ndibawa ne balamula, balikulamula okusinziira ku nnamula yaabwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Balikulumba nga balina amagaali, n’ebiwalulibwa n’ekibiina eky’abantu; balyesega ne beetereeza mu bifo byabwe ne bakulumba enjuuyi zonna nga bakutte engabo ennene n’entono nga bambadde n’enkuufiira ez’ebyuma. Ndikuwaayo mu mukono gwabwe ne bakusalira omusango, era balikubonereza ng’amateeka gaabwe bwe gali.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era balikutabaala nga bakutte eby'okulwanyisa, amagaali ne bannamuziga, era nga balina ekibiina eky'amawanga; balyesimba okulwana naawe, nga balina obugabo n'engabo n'enkuffiira enjuyi zonna: era ndibatikkira okusala emisango, ne bakusalira omusango ng'emisango gyabwe bwe giri.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Balikulumba nga babagalidde ebyokulwanyisa nga bava mu bukiikakkono nga balina amagaali agasikibwa embalaasi n'amalala ge bawalulira ku zinnamuziga, n'eggye eddene erivudde mu mawanga. Balijja balina enkuufiira n'engatto ennene n'entono, eby'okwetaasa. Balikutaayiza ku buli ludda. Ndikuwaayo mu mikono gyabwe, ne bakusalira omusango nga bakolera ku mateeka gaabwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)