Ezekiel 23:25 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nzija kukumalirako ekiruyi kyange; balikuyisa na bukambwe. Balikusalako ennyindo n'amatu; abaliba basigaddewo mu mmwe balifa ekitala. Batabani bo ne bawala bo balibatwala; abaliba basigadde mu mmwe omuliro gulibasenkenya.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ndikuyiwako ekiruyi kyange, nabo ne bakubonereza mu busungu. Balibasalako ennyindo zammwe n’amatu gammwe, n’abalisigalawo balifa n’ekitala. Balitwala batabani bammwe ne bawala bammwe, n’abaliba basigaddewo, balyokebwa omuliro.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era ndikusimbako obuggya bwange, nabo balikubonereza n'ekiruyi; balikuggyako ennyindo yo n'amatu go; n'ekitundu kyo ekirifikkawo kirigwa n'ekitala: balitwala abaana bo ab'obulenzi n'ab'obuwala; n'ekitundu kyo ekirifikkawo kiryokebwa omuliro.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Okukulaga bwe nkusunguwalidde, ndibaleka ne bakumalirako ekiruyi kyabwe. Balikusalako ennyindo n'amatu, ne batta abaana bo. Ddala balitwala batabani bo ne bawala bo ne babookya omuliro.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)