Ezekiel 23:27 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
ndikomya obugwenyufu bwo n'obwamalaaya bwo bye watandikira mu Misiri. Amaaso go toliddamu kugatunuuliza bintu ebyo, ne Misiri toliddamu kumujjukira.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Era ndikomya obukaba n’obwamalaaya bwe waleeta okuva mu Misiri, so tolibuyaayaanira nate newaakubadde okujjukira Misiri.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bwe ntyo bwe ndimazaawo gy'oli obukaba bwo n'obwenzi bwo obwava mu nsi y'e Misiri: n'okuyimusa n'otobayimusiza nate amaaso go newakubadde okujjukira Misiri nate.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bwe ntyo bwe ndimalawo obukaba bwo, n'obwamalaaya bwo bwe wava nabwo e Misiri. Toliddamu kutunuulira bifaananyi bya balubaale b'e Misiri, wadde okuddamu okujjukira Misiri.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bwe ntyo bwe ndimazaawo gy'oli obukaba bwo n'obwenzi bwo obwava mu nsi y'e Misiri: n'okuyimusa n'otobayimusiza nate amaaso go newakubadde okujjukira Misiri nate.