Ezekiel 23:28 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kubanga Omukama Katonda kino ky'ayogera: Nzija kukuwaayo mu mikono gy'abo b'okyawa ne mu gy'abo be wakuba amabega ng'obeetamiddwa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, Nnaatera okukuwaayo eri abo abakukyawa n’eri abo be weetamwa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti Laba, ndikuwaayo mu mukono gw'abo b'okyawa, mu mukono gw'abo omwoyo gwo be gutamiddwa:
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama Afugabyonna agamba nti: “Ndikuwaayo mu mikono gy'abantu b'okyaye era b'otamiddwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti Laba, ndikuwaayo mu mukono gw'abo b'okyawa, mu mukono gw'abo omwoyo gwo be gutamiddwa: