Ezekiel 23:29 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Balikuyisa na bukambwe, era balitwala buli kye wateganira, balikuleka bwereere, busa, n'ensonyi z'obwamalaaya bwo ziryanikibwa; obugwenyufu bwo n'obwenzi bwo
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Balikukwata n’obukyayi obuyitiridde, ne batwala ebintu byonna bye wakolerera, ne bakuleka bwereere nga tolina kantu, n’ensonyi z’obwamalaaya zirabibwe buli muntu. Obukaba bwo n’obugwagwa bwo
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
nabo balikukola eby'obukyayi, balikuggyako omulimu gwo gwonna, ne bakuleka ng'oli bwereere nga tobikkiddwako: obwereere obw'obwenzi bwo ne bubikkulibwa, obukaba bwo era n'obwenzi bwo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era nga bwe bakukyaye, balikuggyako ebibyo byonna bye wateganira, balikwambula ne bakuleka ng'oli bwereere, ng'ebikolwa byo eby'obwenzi n'eby'obwamalaaya byanikiddwa. Obukaba bwo n'obwenzi n'obwamalaaya bwo,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
nabo balikukola olw'obukyawe, balikuggyako omulimu gwo gwonna, ne bakuleka ng'oli bwereere nga tobikkiddwako: obwereere obw'obwenzi bwo ne bubikkulibwa, obukaba bwo era n'obwenzi bwo.