Ezekiel 23:3 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Baakolera obwamalaaya mu Misiri, nga bamalaaya okuva mu buvubuka bwabwe; eyo ennywanto zaabwe gye zaanyigirwanyigirwa n'amabeere g'obuwala bwabwe gye gaatogererwa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
abeewaayo mu Misiri, ne bakola obwamalaaya okuviira ddala mu buto bwabwe, era eyo gye baakwatirakwatira ku mabeere ne batandika n’okumanya abasajja.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
ne bayenda mu Misiri; baayenda mu buto bwabwe: eyo amabeere gaabwe gye gaanyigirizibwa, ne bakoma okuba embeerera.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bwe baali bakyali bato nga bali e Misiri, ne bakola obwamalaaya, ne bakoma okuba embeerera.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
ne bayenda mu Misiri; baayenda mu buto bwabwe: eyo amabeere gaabwe gye gaanyigirizibwa, era eyo gye baabetentera ennywanto ez'obutannaba kumanya musajja.