Ezekiel 23:32 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukama Katonda kino ky'agamba: “ ‘Ojja kunywa ekikompe kya muganda wo, ekinene ate ekiwanvu; - kirikuleetera okusekererwa, kirikunyoomeesa - anti kijjuddemu bingi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, “Olinywa ekikompe kya muganda wo, ekikompe ekigazi era ekinene; kirikuleetera okusekererwa n’okuduulirwa kubanga kirimu ebintu bingi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti Olinywa ku kikompe kya muganda wo, ekiwanvu era ekinene: olisekererwa ddala n'oduulirwa: kirimu bingi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama Afugabyonna agamba nti: “Olinywa ku kikopo kya muganda wo eky'okubonaabona, ekiwanvu era ekinene. Olisekererwa n'okudaalirwa. Ekikopo ekyo kijjuvu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti Olinywa ku kikompe kya muganda wo, ekiwanvu era ekinene: olisekererwa ddala n'oduulirwa: kirimu bingi.