Ezekiel 23:34 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Olikinywa n'okikaliza kyonna; olikyasaayasa obulere, n'otaagulataagula amabeere go; kubanga nze njogedde,’ Omukama Katonda y'agamba.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Olikinywa n’okikaliza; olikyasaayasa, ne weeyuzaayuza amabeere. Nze Mukama Katonda, nkyogedde.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Olikinywa n'okutankira, n'omeketa engyo zaakyo, n'oyuza amabeere go: kubanga nze nkyogedde, bw'ayogera Mukama Katonda.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Olikinywa kyonna n'okikaliza, n'ebibajjo byakyo ebyatise n'obyeyaguza amabeere. Nze Mukama Afugabyonna, Nze njogedde.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Olikinywa n'okutankira, n'omeketa engyo zaakyo, n'oyuza amabeere go: kubanga nze nkyogedde, bw'ayogera Mukama Katonda.