Ezekiel 23:35 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Awo nno Omukama Katonda kino ky'agamba: Kubanga nze wanneerabira, n'onkasuka emabega wo, naawe ojja kuvunaanibwa obugwenyufu bwo n'obwenzi bwo.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“ Mukama Katonda kyava ayogera nti, Kubanga mwanneerabira ne munkuba amabega, kyemuliva mubonaabona olw’okwegomba kwammwe.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mukama Katonda kyava ayogera bw'ati nti Kubanga onneerabidde, n'onsuula emabega, kale naawe beerako obukaba bwo n'obwenzi bwo.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama Afugabyonna, agamba nti: “Nga bw'onneerabidde n'onkuba amabega, kale ojja kubonaabona olw'obukaba bwo n'obwamalaaya bwo.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mukama Katonda kyava ayogera bw'ati nti Kubanga onneerabidde, n'onsuula ennyuma w'amabega go, kale naawe beerako obukaba bwo n'obwenzi bwo.