Ezekiel 23:36 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukama n'aŋŋamba nti: “Mwana w'omuntu, onoolamula Ola ne Oliba? Kale balage ebyenyinyalwa byabwe,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mukama n’aŋŋamba nti, “Omwana w’omuntu olisalira Okola ne Okoliba omusango? Kale nno baŋŋange olw’ebikolwa byabwe eby’ekivve,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era Mukama n'aŋŋamba nti, “Omwana w'omuntu, onoosala omusango gwa Okola ne Okoliba? Kale babuulire emizizo gyabwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama era n'ayogera nange, n'aŋŋamba nti: “Ggwe omuntu, onoosala omusango gwa Ohola ne Oholiba? Kale bategeeze ebyenyinyalwa bye baakola.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era Mukama n'aŋŋamba nti Omwana w'omuntu, onoosala omusango gwa Okola ne Okoliba? kale babuulire emizizo gyabwe.