Ezekiel 23:37 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
kubanga baakola obwenzi, n'omusaayi guli ku mikono gyabwe; baakola obwenzi n'ebifaananyi byabwe ebya balubaale; ne batabani baabwe be banzaalira baabawongera ebifaananyi bya balubaale mu muliro ng'ekyokulya.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
kubanga bakoze eby’obwenzi, n’engalo zaabwe zijjudde omusaayi. Benze ne bakatonda baabwe, ne basaddaaka n’abaana baabwe ng’emmere y’abakatonda baabwe, abaana be banzalira.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga baayenda, n'omusaayi guli mu mikono gyabwe, era baayenda ku bifaananyi byabwe; era ne batabani baabwe be banzaalira baabayisiza mu muliro okuba emmere eri ebifaananyi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Baayenda era ne batemula. Baayenda n'ebifaananyi bya balubaale. Baatemula batabani baabwe be banzaalira. Baabookya babe ebitambiro bye bagabula balubaale baabwe okulya.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga baayenda, n'omusaayi guli mu mikono gyabwe, era baayenda ku bifaananyi byabwe; era ne batabani baabwe be banzaalira baabayisiza mu muliro eri byo okuliibwa.