Ezekiel 23:39 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ku lunaku olwo lwennyini lwe baatambiranga batabani baabwe eri ebifaananyi byabwe ebya balubaale, bayingira Ekitukuvu kyange ne bakijaajaamya. By'ebyo bye baakolanga mu nnyumba yange.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ku lunaku kwe baassaddaakira abaana baabwe eri bakatonda baabwe, baayingira mu watukuvu ne bayonoonawo. Ebyo bye baakola mu nnyumba yange.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga bwe baamala okuttira abaana baabwe ebifaananyi byabwe, kale ne bajja ku lunaku olwo mu kifo kyange ekitukuvu okukyonoona; era, laba, bwe batyo bwe bakoze wakati mu nnyumba yange.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Bwe baamala okutta abaana baabwe ne babatambirira ebifaananyi bya balubaale, ne bajja ku lunaku olwo mu Kifo kyange Ekitukuvu ne bakijaajaamya!
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga bwe baamala okuttira abaana baabwe ebifaananyi byabwe, kale ne bajja ku lunaku olwo mu kifo kyange ekitukuvu okukyonoona; era, laba, bwe batyo bwe bakoze wakati mu nnyumba yange.