Ezekiel 23:4 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Amannya gaabwe, omukulu ye Ola, ate muganda we ye Oliba. Baali bange ne bazaala abaana abalenzi n'abawala. Amannya, Ola ye Samariya, ne Oliba ye Yeruzaalemu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Erinnya ly’omukulu nga ye Okola, ne muto we nga ye Okoliba. Baali bange, era banzalira abaana aboobulenzi n’aboobuwala. Okola ye yali ayitibwa Samaliya, Okoliba nga ye Yerusaalemi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Omukulu nga ayitibwa Okola, ne muto we nga ye Okoliba, ne baba bange ne bazaala abaana ab'obulenzi n'ab'obuwala. N'amannya gaabwe, Samaliya ye Okola, ne Yerusaalemi ye Okoliba.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Amannya gaabwe, omukulu yali ayitibwa Ohola, ne muto we ng'ayitibwa Oholiba. Bombi nabawasa, ne banzaalira abaana ab'obulenzi n'ab'obuwala. Ng'amannya gaabwe bwe gali, Ohola ye Samariya, Oholiba ye Yerusaalemu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'amannya gaabwe Okola, omukulu, ne Okoliba, muganda we: ne baba bange ne bazaala abaana ab'obulenzi n'ab'obuwala. N'amannya gaabwe, Samaliya ye Okola, ne Yerusaalemi ye Okoliba.