Ezekiel 23:40 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Baatumiranga n'abasajja abava ewala obubaka; bwe bajjanga, ng'obeeyonjeza, amaaso ng'ogaziga, nga weewoomya n'amayinja ag'omuwendo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Baatuma ababaka okuleeta abasajja okuva ewala ennyo, era bwe baatuuka, ne munaaba ku lwabwe ne mweyonja mu maaso, ne mwambala n’amayinja ag’omuwendo omungi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era nate mwatumya abantu abava ewala: abaatumirwa omubaka, kale, laba, ne bajja; n'onaabira abo n'oziga amaaso go ne weeyonja n'eby'obuyonjo;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Emirundi n'emirundi baatuma ababaka okuyita abasajja abava ewala, ne bajja. Abakazi bombi abooluganda, ne banaaba ne beenyiriza, era ne beewoomya n'ebyobuyonjo
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era nate mwatumya abantu abava ewala: abaatumirwa omubaka, kale, laba, ne bajja; n'onaabira abo n'oziga amaaso go ne weeyonja n'eby'obuyonjo;