Ezekiel 23:42 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Oluyoogaano lw'ebbiina eriri emirembe nga lumwetoolodde; abasajja abatamiivu abaggyibwa okuva mu ddungu, n'abasajja batyo batyo, ne bambaza obukomo ku mikono gy'abakazi, ne babassa n'emige ku mitwe gyabwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Oluyoogaano olw’ekibinja ky’abantu abatalina nnyo kye bakola ne Abaseba ne lumwetooloola; Abaseba ne baleetebwa okuva mu ddungu wamu n’abasajja abaalyanga mu kasasiro, ne bambaza ebintu eby’ebikomo ku mikono gy’omukazi ne muganda we, ne babatikkira n’engule ennungi ku mitwe gyabwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'eddoboozi ery'ekibiina ekyegolola kyali naye: abatamiivu ne baleetebwa okuva mu ddungu wamu n'abasajja abakopi; ne bateeka ebikomo ku mikono gy'abo bombi, n'engule ennungi ku mitwe gyabwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Eddoboozi ly'ekibinja ky'abantu abali mu ddembe lyabwe, ne liwulirwa, abasajja abakopi omuli n'abatamiivu, ne baleetebwa okuva mu ddungu. Ne bateeka obukomo ku mikono gy'abakazi abo bombi, n'engule ennungi ku mitwe gyabwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'eddoboozi ery'ekibiina ekyegolola lyali naye: abatamiivu ne baleetebwa okuva mu ddungu wamu n'abasajja abakopi; ne bateeka ebikomo ku mikono gy'abo bombi, n'engule ennungi ku mitwe gyabwe.