Ezekiel 23:45 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kyokka abasajja abatuukirivu balibalamula n'ennamula eweebwa abakazi abakola obwenzi n'abakazi abayiwa omusaayi, kubanga bakola obwenzi n'omusaayi gubali ku mikono gyabwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye abatuukirivu balisalira omusango abakazi abenzi era abassi kubanga benzi era n’engalo zaabwe zijjudde omusaayi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'abatuukirivu, abo be balibasalira omusango ng'abakazi abenzi bwe basalirwa omusango era ng'abakazi abayiwa omusaayi bwe basalirwa omusango; kubanga benzi, n'omusaayi guli mu mikono gyabwe.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abantu ab'empisa ennungi, be balibasalira ogw'obwenzi n'ogw'obutemu ne gibasinga, kubanga benzi era batemu.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'abatuukirivu, abo be balibasalira omusango ng'abakazi abenzi bwe basalirwa omusango era ng'abakazi abayiwa omusaayi bwe basalirwa omusango; kubanga benzi, n'omusaayi guli mu mikono gyabwe.