Ezekiel 23:46 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Omukama Katonda kino ky'agamba: Mubakuŋŋaanyizeeko ekibiina, obaleke mu buyinza bw'entiisa n'okunyagibwa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, ‘Mukuŋŋaanye ekibiina ekinene mubaleeteko entiisa era mubanyage.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti, “Ndibalinnyisiza ekibiina ne mbawaayo okuyuuguumizibwa eruuyi n'eruuyi n'okunyagibwa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama Afugabyonna agamba nti: “Ndibasindikira ogubinja gw'abantu ne nguleka ne gubayuuguumya era ne gubanyagulula.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti Ndibalinnyisiza ekibiina ne mbawaayo okuyuuguumizibwa eruuyi n'eruuyi n'okunyagibwa.