Ezekiel 23:7 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yakola obwenzi n'Abassuri ab'ebika ebya waggulu, ne yeegwagwawaza n'ebifaananyi byabwe byonna ebya balubaale, eby'abo bonna be yakwatirwa amaddu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yeewaayo okubeera malaaya eri abakulembeze ab’e Bwasuli, ne yeeyonoonyesa ne bakatonda abalala bonna aba buli muntu gwe yakabawalanga naye.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'abagabira obwenzi bwe, bonna basajja ab'e Bwasuli abalonde: era buli gwe yasuusuuta, ne yeyonoonyesa n'ebifaananyi byabwe byonna.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bw'atyo n'akola obwamalaaya n'abasajja Abassiriya, bonna abasinga okwegombebwa. Okubasuusuuta ne kumuleetera okweyonoona ng'asinza ebifaananyi byonna ebya balubaale baabwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'abagabira obwenzi bwe, bonna basajja ab'e Bwasuli abalonde: era buli gwe yasuusuuta, ne yeyonoonyesa n'ebifaananyi byabwe byonna.