Ezekiel 23:8 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Teyaleka bwenzi bwe yaliko mu Misiri, abasajja gye beebakanga naye mu buvubuka bwe, ne bakwatirira amabeere g'obuwala bwe, ne bamumalirako obwenzi bwabwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Teyalekayo bwamalaaya bwe yatandikira mu Misiri.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
So talekangayo bwenzi bwe okuva mu nnaku ez'e Misiri; kubanga mu buto bwe baasula naye, n'akoma okuba embeerera, ne bamufukako obwenzi bwabwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Teyalekayo bwamalaaya bwe, bwe yatandika ng'ali e Misiri, gye yeebakira n'abasajja ng'akyali muto, n'afiirwa obubeererevu bwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
So talekangayo bwenzi bwe okuva mu nnaku ez'e Misiri; kubanga mu buto bwe baasula naye, ne babetenta ennywanto ez'obutannaba kumanya musajja: ne bamufukako obwenzi bwabwe.