Ezekiel 24:12 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye kutuuyanira bwereere, obutalagge bwayo obungi bugaanyi okugenda n'omuliro.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Okufuba kwonna kubadde kwa bwereere, kubanga ebyateekebbwamu ebingi tebiggiddwamu, n’omuliro nagwo tegubyokeza.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Okufuba kwonna kubadde kwa bwereere, obutalagge bwakyo obungi tebuvaamu na muliro.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Wadde nga kikooya, kitawaanyiza bwereere: obutalagge bwakyo obungi tebukivaamu. Obutalagge bwakyo tebukivaamu na muliro.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kyekooyezza n'okutegana: era naye obutalagge bwakyo obungi tebukivaamu; obutalagge bwakyo tebuvaamu na muliro.