Ezekiel 24:13 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Obujama bwo bwe bugwenyufu bwo; kubanga nayagala okukutukuza nga tokkiriza kutukuzibwako bujama bwo; tolitukula okutuusa ng'obusungu bwange ku ggwe bukkakkanye.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“ ‘Kaakano mu kwonoona kwo wagwenyuka, kubanga nagezaako okukutukuza ggwe, naye ne kitasoboka kukutukuza, era tolitukuzibwa okutuusa ekiruyi kyange bwe kirikkakkana.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mu kwonoona kwo wagwenyuka, kubanga n'afuba nkulongoose, naye tewalongooka. Toliddamu kulongoosebwa okutuusa lwe ndikumalirako ekiruyi kyange.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Obukaba bwo, Yerusaalemu bukwonoonye. Wadde nafuba nkulongoose, naye tewalongooka. Toliddamu kulongooka okutuusa lwe ndikumalirako ekiruyi kyange.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mu mpitambi yo mulimu obukaba: kubanga nakulongoosa so tewalongoosebwa, kyoliva olema okulongoosebwa empitambi yo nate n'akatono okutuusa lwe ndikkusa ekiruyi kyange ku ggwe.