Ezekiel 24:14 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nze Omukama nze njogedde; kijja kutuukirira, nzija kukikola. Sijja kwejjulula, sijja kusonyiwa, sijja kweddamu. Balikulamula nga basinziira ku makubo go n'ebikolwa byo nga bwe biri, y'agamba Omukama.’ ”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“ ‘Nze Mukama njogedde. Ekiseera kituuse okubaako ne kye nkola. Siritunula butunuzi so sirisaasira newaakubadde okwejjusa. Ndikusalira omusango nga nsinziira ku neeyisaayo ne ku bikolwa byo, bw’ayogera Mukama Katonda.’ ”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Nze Mukama nkyogedde, ekiseera kirituuka nange ndikikola, siridda mabega era sirisonyiwa so siryejjusa. Ng'amakubo go bwe gali, era ng'ebikolwa byo bwe biri, bwe ntyo bwe ndikusalira omusango, bw'ayogera Mukama Katonda.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Nze Mukama njogedde. Ekiseera kirituuka, ne nkola. Siridda mabega, sirisonyiwa, era sirikwatibwa kisa. Ndikusalira omusango nga nsinziira ku mpisa zo, ne ku bikolwa byo.” Mukama Afugabyonna, bw'atyo bw'agamba.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Nze Mukama nkyogedde: kirituuka nange ndikikola; siridda nnyuma so sirisonyiwa so siryejjusa; ng'amakubo go bwe gali era ng'ebikolwa byo bwe biri, bwe balikusalira omusango, bw'ayogera Mukama Katonda.