Ezekiel 24:16 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Mwana w'omuntu, n'olukuba lumu luti ŋŋenda okukuggyako byonna ebisanyusa amaaso go, sso ate totemanga emiranga yadde okukaaba yadde okuttulukusa amaziga.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Omwana w’omuntu, luliba lumu oliba oli awo ne nkuggyako ekyo amaaso go kye gasinga okwegomba, naye tokungubaganga newaakubadde okukuba ebiwoobe newaakubadde okukaaba.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Omwana w'omuntu, laba, oliba oli awo ne nkuggyako ekyo amaaso go kye geegomba. Naye tokungubaganga wadde okukuba ebiwoobe newakubadde okukulukusa amaziga.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Ggwe omuntu, laba, nja kukuggyako mbagirawo, oyo gw'otunulako n'osanyuka. Naye tojja kukungubaga wadde okukulukusa amaziga.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Omwana w'omuntu, laba, oliba oli awo ne nkuggyako ekyo amaaso go kye geegomba: era naye towuubaalanga so tokaabanga maziga so n'amaziga go galemenga okukulukuta