Ezekiel 24:17 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Osindiranga muli, tokuma lumbe lwa mufu; ettambaala lyo ery'oku mutwe lyesibe, ne mu bigere naanikamu engatto, n'amaaso togabikka kiremba, tolya mmere ya bakungubazi.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Osindanga mu kasirise naye tokungubagiranga mufu. Ekiremba ku mutwe gwo okinywezanga, era osigalanga oyambadde engatto zo; tobikkanga wansi w’amaaso go wadde okulya emmere ey’omulumbe.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ossanga ekikkowe mu kasirise, tokungubagiranga afudde. Weesibanga ekiremba kyo, noonaanika engatto zo mu bigere, so tobikkanga ku mimwa gyo, era tolyanga ku mmere yabakungubazi.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Sindira muli kasirise. Tokungubagira afudde. Weesibe ekiremba kyo ku mutwe, onaanike engatto mu bigere. Teweebikka ku maaso, era tolya ku mmere ya bakungubazi.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ssa ebikkowe naye kasirise towuubaalira afudde, weesibe ekiremba kyo, onaanike engatto zo mu bigere, so tobikka ku mimwa gyo, so tolyanga ku mmere ey'abantu.