Ezekiel 24:18 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ku makya nayogera eri abantu, ate akawungeezi mukazi wange n'afa. Enkeera nakolera ddala nga bwe nalagirwa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo ne njogera eri abantu ku makya, akawungeezi mukazi wange n’afa. Enkeera ne nkola nga bwe nalagiddwa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo ne njogera n'abantu ku makya, ku olwo akawungeezi, mukazi wange n'afa. Enkeera ne nkola nga Mukama bwe yandagidde.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo ne njogera n'abantu mu budde obw'enkya. Ku olwo akawungeezi, mukazi wange n'afa. Ku lunaku olwaddirira, ne nkola nga Mukama bwe yandagidde.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo ne njogera n'abantu enkya; akawungeezi mukazi wange n'afa: ne nkola enkya nga bwe nnalagiddwa.