Ezekiel 24:19 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abantu ne bambuuza nti: “Lwaki okola bw'otyo? Tootubuulire bino kye bigenderera kututegeeza?”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abantu ne bambuuza nti, “Bino bitegeeza ki?”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abantu ne bambuuza nti, “Tootubuulire bino byonna by'okola kye bitutegeeza ffe? ”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abantu ne ba mbuuza nti: “Tubuulire obubaka obutukwatako, obuli mu ebyo by'okola.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Abantu ne baŋŋamba nti Tootubuulire ebigambo bino bwe biri ku ffe, kyova okola bw'otyo?