Ezekiel 24:21 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
‘Gamba ennyumba ya Yisirayeli nti Omukama Katonda kino ky'agamba: Nzija kujaajaamya Ekitukuvu kyange, okwekuza kw'amaanyi gaabwe, essanyu ly'amaaso gammwe, kye musuuta okuzaama. Batabani bammwe ne bawala bammwe be mwaleka emabega bajja kufa ekitala.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Tegeeza ennyumba ya Isirayiri nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, nnaatera okwonoona awatukuvu wange, ekigo kye mwegulumiririzangamu, amaaso gammwe kye geegombanga, n’emitima gyammwe kye gyayagalanga, ne batabani bammwe ne bawala bammwe abaasigala emabega, balifa n’ekitala.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
‘Gamba ennyumba ya Isiraeri nti, Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti, ndyonoona ekifo kyange ekitukuvu, amalala ag'obuyinza bwammwe, amaaso gammwe kye geegomba, n'ekyo emmeeme yammwe kye yagala, kale batabani bammwe ne bawala bammwe be mwaleka mu Yerusaalemi balittirwa mu lutalo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
okubagamba mmwe ab'Eggwanga lya Yisirayeli nti: Mukama Afugabyonna agamba nti: ‘Ndyonoona Ekifo kyange Ekitukuvu ekibaleetera okwemanya bwe muli ab'amaanyi, era kye mwegomba okutunulako ne kibatwala omutima. Era batabani bammwe ne bawala bammwe be mwaleka mu Yerusaalemu, balittirwa mu lutalo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Gamba ennyumba ya Isiraeri nti Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti Laba, ndyonoona ekifo kyange ekitukuvu, amalala ag'obuyinza bwammwe, amaaso gammwe kye geegomba, n'ekyo emmeeme yammwe ky'esaasira; kale abaana bammwe ab'obulenzi n'ab'obuwala be mwaleka ennyuma baligwa n'ekitala.