Ezekiel 24:23 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
mulirekako ebitambala byammwe ku mitwe, mulinaanika engatto mu bigere; temulitema miranga yadde okukaaba, muliyenjebuka olw'ebibi byammwe, buli omu ng'asindira muganda we.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mulisigala nga mwesibye ebiremba ku mitwe gyammwe, era mulisigala nga mwambadde engatto zammwe. Temulikuba biwoobe newaakubadde okukaaba naye muliyongobera olw’ebibi byammwe, buli muntu n’asindira munne ennaku.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mulisigala nga mwesibye ebiremba byammwe ku mitwe gyammwe, era nga mwambadde engatto mu bigere byammwe: temulikungubaga, temulikaaba naye muliyongobera olwo butali butuukirivu bwammwe, na buli muntu alisindira munne ennaku ye.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ebiremba byammwe birisigala ku mitwe gyammwe, n'engatto zammwe zirisigala mu bigere byammwe. Temulikungubaga era temulikaaba maziga, naye mulikogga olw'ebibi byammwe, buli muntu asindire munne ennaku.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'ebiremba byammwe biriba ku mitwe gyammwe, n'engatto zammwe mu bigere byammwe: temuliwuubaala so temulikaaba; naye muliyongoberera mu butali butuukirivu bwammwe, ne musinda buli muntu ne munne.