Ezekiel 24:25 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Naawe, mwana w'omuntu, ku olwo lwe ndibaggyako ettendo ly'amaanyi gaabwe, essanyu n'ekitiibwa kyabwe, ekisanyusa amaaso gaabwe, omutima gwabwe kye gusuuta, ne batabani baabwe ne bawala baabwe;
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Ate ggwe, omwana w’omuntu, olunaku lwe ndibaggyako ekigo kyabwe, n’essanyu lyabwe n’ekitiibwa kyabwe, n’okwegomba okw’amaaso gaabwe, n’okwegomba okw’emitima gyabwe, ne batabani baabwe ne bawala baabwe,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Naawe, omwana w'omuntu, ku lunaku lwe ndibaggyako ekigo kyabwe, essanyu n'ekitiibwa kyabwe, amaaso gaabwe kye geegomba, n'ekyo kye bateekako omutima gwabwe, abaana baabwe ab'obulenzi n'ab'obuwala,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama n'aŋŋamba nti: “Kale ggwe omuntu, ku lunaku olwo ndibaggyako ekyo ekibaleetera okwemanya bwe bali ab'amaanyi, ekibasanyusa, ekibeewaanya, kye beegomba okutunulako era ekibatwala omutima. Era ndibaggyako batabani baabwe ne bawala baabwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naawe, omwana w'omuntu, ku lunaku lwe ndibaggyako amaanyi gaabwe, essanyu ery'ekitiibwa kyabwe, amaaso gaabwe kye geegomba, n'ekyo kye bateekako omutima gwabwe, abaana baabwe ab'obuenzi n'ab'obuwala,