Ezekiel 24:27 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ku olwo akamwa ko kaligguka eri aliba awonyeewo, olyogera era toliddayo kubeera kasiru. Bw'otyo bw'olibeera akabonero gye bali, nabo balimanya nti nze Mukama Katonda.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mu kiseera ekyo olyasamya akamwa ko, era olyogera eri kaawonawo so toliddayo kusirika. Era oliba kabonero gye bali, bamanye nga nze Mukama.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ku lunaku olwo olulimi lwo lulisumulukuka n'osobola okwogera n'oyo aliba awonyeewo. Bw'otyo oliba kabonero gyebali, era balimanya nga nze Mukama.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ku lunaku olwo, olulimi lwo lulisumulukuka n'osobola okuddamu okwogera n'oyo aliba awonyeewo. Bw'otyo bw'oliba akabonero akalabula abantu abo, era balimanya nga Nze Mukama.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ku lunaku lwo akamwa ko kalyasamira oyo aliba ng'awonye, n'oyogera so toliba kasiru nate: bwe kityo oliba kabonero gye bali; kale balimanya nga ze Mukama.