Ezekiel 24:5 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Labayo endiga esinga mu kisibo. Wansi waayo tuumayo enku; tokoseza ddala ebifi ebirimu, fumba amagumba agali muli.’
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
mulonde endiga esinga obulungi okuva mu kisibo, Oteeke ebisiki wansi w’entamu, mweseze ebigirimu, era ofumbe n’amagumba agalimu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Genda mu kisibo kyo oggyemu esinga obulungi, oteeke ebisiki wansi w'entamu, ofumbe bulungi byesere, ennyama n'amagumba biggye.’ ”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kwata mu ggana oggyemu eyo esingamu obulungi, oteekemu enku wansi, ofumbe bulungi byesere, ennyama n'amagumba biggye.’ ”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ddira ku mbuzi esinga obulungi, otuume amagumba wansi waayo: gyeseze bulungi; weewaawo, amagumba gaayo gafumbibwe wakati mu yo.