Ezekiel 24:6 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Awo nno Omukama Katonda kino ky'agamba: “ ‘Zikusanze, ggwe ekibuga ekiyiwa omusaayi, entamu omuli obutalagge, ate obutalagge bwayo obutaliggwaamu! Ggyamu kifi ku kifi awatali kulobozaamu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“ ‘Kubanga bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, “ ‘Zikusanze ggwe ekibuga ekiyiwa omusaayi, ggwe entamu eriko enziro, eteereddwamu ebintu ebitaaveemu. Gyamu ekifi kimu kimu awatali kukuba kalulu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Mukama Katonda kyava ayogera bw'ati nti, Zikusanze ggwe ekibuga ekiyiwa omusaayi, kiri nga sseffuliya erimu obutalagge, so n'obutalagge bwayo tebugivaamu. Gyamu ekifi kimu awatali kweroboza,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama Afugabyonna, kyava agamba nti: “Ekibuga ekitemu zikisanze! Kiri nga sseffuliya erimu obutalagge, ng'obutalagge bwayo tebugivaamu. Gitoolemu kifi ku kifi, awatali kweroboza,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mukama Katonda kyava ayogera bw'ati nti Zisanze ekibuga eky'omusaayi, essufuliya omuli obutalagge bwayo, so n'obutalagge bwayo tebugivuddeemu! giggyeemu kitundu kitundu; tegwiriddwako kalulu.