Ezekiel 24:7 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“ ‘Kubanga omusaayi gwe kyayiwa gukirimu wakati; kyaguyiwa ku lwazi olwereere; tekyaguyiwa ku ttaka enfuufu we yandigubikkidde.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“ ‘Omusaayi gwe yayiwa guli wakati mu ye, yaguyiwa ku lwazi olwereere; teyaguyiwa wansi enfuufu ereme okugubikka.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga omusaayi gwe kyayiwa guli wakati mu kyo; omusaayi kyaguyiwa ku lwazi olwereere, tekyaguyiwa ku ttaka gubikkibweko enfuufu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
kubanga waaliwo obutemu mu kyo. Naye omusaayi tekyaguyiwa ku ttaka kubikkibwako nfuufu. Kyaguteeka ku lwazi olwereere.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga omusaayi gwakyo guli wakati mu kyo; kyaguteeka ku lwazi olwereere; tekyagufuka ku ttaka okugubikkako enfuufu;