Ezekiel 24:9 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“ Olw'ekyo Omukama Katonda kino ky'agamba: “ ‘Zikusanze, ekibuga eky'omusaayi! Nange enku nzija kuzituuma.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“ ‘ Mukama Katonda kyava ayogera nti, “ ‘Zikusanze ggwe ekibuga ekiyiwa omusaayi! Nange ndituuma enku nnyingi ddala.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mukama Katonda kyava ayogera bw'ati nti, Zikusanze ggwe ekibuga ekiyiwa omusaayi! era nange ndikola entuumu ennene ey'enku.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama Afugabyonna kyava agamba nti: “Zikusanze ggwe ekibuga ekitemu. Nange nzennyini ndikola entuumu ennene ey'enku.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mukama Katonda kyava ayogera bw'ati nti Zisanze ekibuga eky'omusaayi! era nange nditeekera enkoomi okuba ennene.