Ezekiel 25:12 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Omukama Katonda kino ky'agamba: Kubanga Edomu yawoolera eggwanga ku nnyumba ya Yuda, n'azza omusango munene mu kumwesasulizaako,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, ‘Kubanga Edomu yawoolera eggwanga ku nnyumba ya Yuda, bw’etyo n’esingibwa omusango olw’ekikolwa ekyo,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti, “Edomu akoze bubi okuwoolera eggwanga ku nnyumba ya Yuda, bw'etyo esingiddwa omusango olw'ekyo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama Katonda agamba nti: “Abeedomu baakola bubi nnyo okuwoolera eggwanga ku b'omu Buyudaaya awatali kusaasira. Amo 1:11-12; Ob 1-14; Mal 1:2-5
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti Kubanga Edomu akoze bubi ennyumba ya Yuda ng'awalana eggwanga, era ayonoonye nnyo era yeewalanidde eggwanga ku bo;