Ezekiel 25:13 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
kale nno Omukama Katonda kino ky'agamba nti: Nzija kugololera omukono gwange ku Edomu mmumalemu abantu n'ensolo. Nzija kumufuula matongo; okuva e Temani okutuuka e Dedani, balifa kitala.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mukama Katonda kyava ayogera nti, Ndigololera ku Edomu omukono gwange, ne nzita abantu be n’ebisolo byabwe. Ndigisaanyaawo, n’abo abaliba mu Temani okutuuka e Dedani balifa ekitala.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mukama Katonda kyava ayogera bw'ati nti, Ndigololera ku Edomu omukono gwange, ne ngimalamu abantu n'ensolo. Ndigifuula matongo, abantu baamu balittibwa okuva e Temani okutuuka e Dedani.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Nze Mukama Afugabyonna kyenva ŋŋamba nti ndibonereza Edomu ne ngimalamu abantu n'ensolo. Ndigifuula matongo. Abantu baamu balittirwa mu lutalo okuva e Temani okutuuka e Dedani.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mukama Katonda kyava ayogera bw'ati nti Ndigololera ku Edomu omukono gwange, ne mmumalamu abantu n'ensolo: era ndigizisa okuva e Temani: okutuuka e Dedani baligwa n'ekitala.