Ezekiel 25:14 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nzija kuwoolera eggwanga ku Edomu n'omukono gw'abantu bange Yisirayeli. Edomu balimukola ng'obusungu bwange n'obuswandi bwe byagala; balitegeera nga nze mpooledde eggwanga, Omukama Katonda y'agamba.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ndiwoolera eggwanga ku Edomu nga nkozesa omukono gw’abantu bange Isirayiri, era balikola ku Edomu ng’obusungu bwange n’ekiruyi kyange bwe byenkana; balimanya okuwoolera eggwanga kwange bwe kwenkana, bw’ayogera Mukama Katonda.’ ”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ndiwoolera eggwanga ku Edomu n'omukono gw'abantu bange Isiraeri, bagimalireko obusungu n'ekiruyi kyange, balyoke bamanye nga mpoolera eggwanga, bw'ayogera Mukama Katonda.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ndikozesa abantu bange Abayisirayeli okuwoolera eggwanga ku Edomu, bakole ku Edomu nga bwe njagala, bagimalireko obusungu n'ekiruyi kyange, Abeedomu balyoke bamanye nga bwe mpoolera eggwanga.” Mukama Afugabyonna, bw'atyo bw'agamba.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era nditeeka eggwanga lyange ku Edomu n'omukono gw'abantu bange Isiraeri; era balikolera mu Edomu ng'obusungu bwange bwe buli era ng'ekiruyi kyange bwe kiri: kale balimanya okuwalana kwange, bw'ayogera Mukama Katonda.