Ezekiel 25:15 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Omukama Katonda kino ky'agamba: Kubanga Abafilisitiini baawoolera eggwanga ne beesasuza n'omutima ogulimu obunyoomi, ne baagala okusaanyaawo Yuda olw'obukyayi obw'edda,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, ‘Kubanga Abafirisuuti beesasuza nga bawoolera eggwanga ne beesasuza n’ettima, ne banoonya okuzikiriza Yuda, n’obukambwe obw’edda,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti, “Kubanga Abafirisuuti beesasuza ne bawoolera eggwanga ku balabe baabwe okubasanyawo ne ttima,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama Afugabyonna, agamba nti: “Abafilistiya nga bwe bawooledde eggwanga ku balabe baabwe ab'olubeerera, ne babazikiriza nga bajjudde obukyayi, Zef 2:4-7; Zek 9:5-7
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti Kubanga Abafirisuuti bakoze nga bawalana eggwanga, era bawalanye eggwanga emmeeme yaabwe ng'eriko ekyejo, okugizikiriza n'obulabe obutaggwaawo;