Ezekiel 25:16 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukama Katonda kyava agamba kino nti: Nzija kugololera ku Bafilisitiini omukono gwange; nzija kumalawo Abakereti, nzikirize n'abo abasigadde ku lubalama lw'ennyanja.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mukama Katonda kyava ayogera nti, Nnaatera okugololera omukono gwange ku Bafirisuuti, era nditta Abakeresi, n’abaliba basigaddewo ku mabbali g’ennyanja ndibazikiriza.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mukama Katonda kyava ayogera bw'ati nti, ndigololera omukono gwange ku Bafirisuuti ne mbazikiriza, era ndimalirawo ddala Abakeresi, n'abaliba bawonyeewo ku b'oku lubalama lw'ennyanja.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Nze Mukama Katonda kyenva ŋŋamba nti ndirumba Abafilistiya abo ne mbazikiriza. Ndimalirawo ddala Abakereti, nsaanyeewo n'abaliba bawonyeewo ku b'oku lubalama lw'ennyanja.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mukama Katonda kyava ayogera bw'ati nti Laba, ndigololera ku Bafirisuuti omukono gwange, era ndimalawo Abakeresi, ne nzikiriza ekitundu ekifisseewo eky'oku ttale ly'ennyanja.